Zabbuli 50:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
Nze Katonda, Katonda wo.
Yeremiya 6:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
n’etteeka lyange baligaanye.
Olubereberye 31:50
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
50 (A)Bw’oliyisa obubi bawala bange, oba bw’olibawasizaako abakazi abalala, newaakubadde nga tewali muntu n’omu wakati waffe, ojjukire nti Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 4:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)nkoowoola eggulu n’ensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna.
Read full chapter
Isaaya 1:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Eggwanga Ejjeemu
2 (A)Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi,
kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti,
“Nayonsa ne ndera abaana
naye ne banjeemera.
Zabbuli 11:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
era geetegereza abaana b’abantu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.