Zabbuli 2:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.
Zabbuli 69:36
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
36 (A)Abaana b’abaweereza be balikisikira;
n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.
Isaaya 65:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba:
“Abaweereza bange bajja kulya,
naye mmwe mujja kulumwa enjala,
abaweereza bange bajja kunywa,
naye mmwe mulumwe ennyonta;
abaweereza bange bajja kujaguza,
naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.