Yobu 28:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)N’agamba omuntu nti,
‘Laba, okutya Mukama, ge magezi,
n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”
Zabbuli 111:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
Engero 9:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
Engero 15:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,
n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.
Omubuulizi 12:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Kale byonna biwuliddwa;
eno y’enkomerero yaabyo:
Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge,
kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.