Yeremiya 42:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’
Read full chapter
Okukungubaga 2:3-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Mu busungu obungi
amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza;
bw’alabye omulabe ng’asembera,
n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo;
anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro
bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.
4 (B)Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe,
era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu.
Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso
mu weema ey’omuwala wa Sayuuni,
okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze;
obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.
5 (C)Mukama afuuse ng’omulabe;
azikirizza Isirayiri,
n’azikiriza embiri ze,
n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi.
Aleetedde muwala wa Yuda
okweyongera okukaaba n’okukungubaga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.