Yeremiya 4:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Obulumi, Ayi Obulumi!
Neenyoolera mu bulumi!
Ayi obulumi bw’omutima gwange!
Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,
kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,
mpulidde enduulu z’olutalo.
Okukungubaga 2:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Amaaso gange gakooye olw’okukaaba
n’emmeeme yange enyiikadde
n’omutima gwange gulumwa
olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,
n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira
wakati mu nguudo ez’omu kibuga.
Ekyamateeka Olwokubiri 32:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe
ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere.
Abavubuka abalenzi n’abawala balizikirira
abaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo.
Ezeekyeri 7:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Ebweru waliyo ekitala
ne munda waliyo kawumpuli n’enjala.
Abali ku ttale
balifa kitala,
abali mu kibuga
balimalibwawo kawumpuli n’enjala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.