Yeremiya 26:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Kaakano mukyuse amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe mugondere Mukama Katonda wammwe. Olwo Mukama anaakyusa n’ataleeta bikangabwa by’aboogeddeko.
Read full chapter
Yona 3:8-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe. 9 (B)Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.”
10 (C)Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.
Read full chapter
Ezeekyeri 18:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)“Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa.
Read full chapter
Koseya 11:8-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
9 (B)Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli,
so siridda kuzikiriza Efulayimu;
kubanga siri muntu wabula ndi Katonda,
Omutukuvu wakati mu mmwe:
sirijja na busungu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.