Okuva 9:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Kubanga ku mulundi guno nzija kukusindikira kawumpuli ku ggwe kennyini, ne ku baweereza bo, ne ku bakungu bo, olyoke otegeere nga tewali ali nga nze mu nsi yonna.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 4:35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
35 (A)“Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga Mukama ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 33:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)“Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni
eyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyamba
ne ku bire mu kitiibwa kye.
2 Samwiri 7:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)“Ng’oli mukulu, Ayi Mukama Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde n’amatu gaffe.
Read full chapter
1 Ebyomumirembe 17:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)“Tewaliwo akufaanana, Ayi Mukama, era tewali Katonda mulala wabula ggwe, okusinziira ku bye twewuliridde n’amatu gaffe.
Read full chapter
Zabbuli 86:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
Isaaya 46:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo.
Kubanga nze Katonda, teri mulala.
Nze Katonda, teri ali nga nze;
Yeremiya 10:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.
Oli mukulu,
era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.