Okubala 26:5-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Ab’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:
abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki;
abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu;
6 abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni;
abaava mu Kalumi, lwe lunyiriri lw’Abakalumi.
7 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).
8 Mutabani wa Palu yali Eriyaabu, 9 (B)ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda. 10 (C)Ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu. 11 (D)Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.
Okubikkulirwa 7:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 Ab’omu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.