Isaaya 37:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)kino kye kigambo kye mmwogeddeko:
“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera
akunyooma era akusekerera.
Omuwala wa Yerusaalemi
akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka.
Yeremiya 14:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)“Kino ky’oba obagamba nti,
“ ‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga
emisana n’ekiro awatali kukoma;
kubanga muwala wange embeerera, abantu bange,
bafunye ekiwundu ekinene,
ekintu eky’amaanyi.
Okukungubaga 1:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo?
mwetegereze mulabe
obanga waliwo obuyinike obwenkana,
obwantukako,
Mukama bwe yanteekako
ku lunaku olw’obusungu bwe obungi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.