Isaaya 24:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa;
Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa
ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi,
ne mu maaso g’abakadde.
Isaaya 5:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe
ng’ennyanja eyira.
Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi,
aliraba ekizikiza n’ennaku;
n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.
Okubikkulirwa 8:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Malayika owookuna n’afuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu eky’enjuba n’ekimu ekyokusatu eky’omwezi, n’ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obw’emisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, n’omusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekizikiza ne kyeyongera bwe kityo.
Read full chapter
Ezeekyeri 32:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Bwe ndikusaanyaawo,
ndibikka eggulu
ne nfuula emmunyeenye zaakwo
okubaako ekizikiza;
Matayo 24:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa
“kw’omu nnaku ezo kuwedde,
‘enjuba eriggyako ekizikiza
era n’omwezi teguliyaka,
n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”
Makko 13:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 “Ennaku ez’entiisa eyo nga ziweddeko,
“ ‘enjuba eriggyako ekizikiza,
era n’omwezi teguliyaka,
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.