Eseza 4:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Kubanga ggwe bw’onoosirika mu kiseera kino, okubeerwa n’okulokolebwa kw’Abayudaaya kuliva awalala, naye ggwe n’ennyumba ya Kitaawo mulizikizibwa. Ate ani amanyi obanga wafuulibwa Nnabagereka lwa kiseera kino?”
Read full chapter
Nekkemiya 8:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Oluvannyuma abantu bonna ne beddirayo ewaabwe ne balya ne banywa ne baweerezaako ne bannaabwe abatalina kyakulya, era ne basanyuka nnyo, kubanga baategeera amakulu g’ebigambo ebyabategeezebwa.
Read full chapter
Zabbuli 30:11-12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ofudde okwaziirana kwange amazina;
onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.
12 (B)Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga.
Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.
2 Bassekabaka 25:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Kabaka n’awanga Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku ennaku zonna ez’obulamu bwe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.