Ebyabaleevi 4:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
Read full chapter
Ebyabaleevi 8:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Musa n’agitta, n’addira omusaayi gwayo n’agusiiga n’olugalo lwe ku mayembe ag’oku kyoto okukyebungulula, n’atukuza ekyoto. Omusaayi ogwasigalawo n’aguyiwa wansi w’ekyoto, n’akitukuza, okukitangiririra.
Read full chapter
Ebyabaleevi 8:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Awo n’aleeta endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo.
Read full chapter
Ebyabaleevi 8:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ennaku ez’Okwawulibwa
30 (A)Awo Musa n’addira ku mafuta ag’okwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n’amansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye awamu ne batabani be n’ebyambalo byabwe.
Read full chapter
Ebyabaleevi 5:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mabbali g’ekyoto. Omusaayi gwonna ogunaabanga gusigaddewo anaaguttululiranga ku ntobo y’ekyoto. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi.
Read full chapter
Ebyabaleevi 9:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’annyika olunwe lwe mu musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto, n’afuka omusaayi ku ntobo y’ekyoto.
Read full chapter
Ebyabaleevi 16:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Era anaafulumanga n’ajja ku kyoto ekiri awali Mukama n’akitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gw’ennyana eya seddume ne ku musaayi gw’embuzi n’agusiiga ku mayembe gonna ag’ekyoto.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.