1 Samwiri 19:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Sawulo Agezaako Okutta Dawudi
19 (A)Awo Sawulo n’agamba mutabani we Yonasaani, n’abaweereza be bonna, batte Dawudi. Naye Yonasaani yayagalanga nnyo Dawudi,
Read full chapter
Makko 14:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Omukazi Asiiga Yesu Amafuta ag’Omuwendo
14 (A)Embaga ey’Okuyitako[a], kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte.
Read full chapterFootnotes
- 14:1 Embaga ey’Okuyitako: Mbaga ya Bayudaaya ejjukirirwako olunaku Malayika wa Mukama lwe yatta abaana ba Misiri ababereberye mu Misiri, kyokka n’alekawo Abayisirayiri. Abaana b’endiga oba ab’embuzi battibwanga ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi gwa Nisani (Maaki-Apuli) mu kukwata embaga eyo. Omukolo ogwo gwatandikibwanga mu ssaawa ez’akawungeezi ng’enjuba egoloobye ne guggwa ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro
Ebikolwa by’Abatume 23:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olukwe Okutta Pawulo
12 (A)Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo!
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.