1 Ebyomumirembe 29:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi.
Read full chapter
Zabbuli 39:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ayi Mukama, wulira okusaba kwange,
owulire okukaaba kwange onnyambe.
Tonsiriikirira nga nkukaabirira.
Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze,
nga bajjajjange bonna bwe baali.
2 Abakkolinso 5:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 Noolwekyo tulina obwesige bulijjo nga tumanyi nti bwe tuba mu mubiri guno, tetuba waffe, olwo nga tetuli na Mukama waffe.
Read full chapter
Abaebbulaniya 11:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti bibalindiridde, kubanga baategeera nti ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.